Ebyobulamu

Lunaku lwa musujja gwa nsiri

Ali Mivule

April 25th, 2014

No comments

mosquito nets new

Nga Uganda yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’omusujja gw’ensiri, minisitule y’ebyobulamu efunvubidde okulwanyisa omusujja guno okugumala mu ggwanga.

Omwogezi wa ministry eno  Rukia Nakamatte agamba oluvanyuma lw’okumaliriza okugaba obutimba bw’ensiri okwetolola eggwanga, kati bakubaga entekateka endala akana ne kawefube omulala okulwanyisa obulwadde buno.

 okusinziira ku bwino gwebalina, malaria akola ebitundu 50% ku balwadde abajanjabibwa nga bava bweru, abantu 20%babawa ebitanda ate bbo 14% nebafa.

Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi yasubirwa okukulemberamu okukuza olunaku luno mu district ye Mubende.