Ebyobulamu

Lwaki abakyala bafiira mu ssanya- Gavumenti ewaabiddwa

Ali Mivule

March 20th, 2014

No comments

Pregant woman

Ab’ekibiina ekirwanirira eddembe ly’abantu ku byobulamu bagenze mu kooti ey’okuntikko nga beemulugunya ku mbeera mu malwaliro ga gavumenti evaako abakyala okufiira mu ssanya.

Bano bayise mu bannamateeka Peter Walubiri ne David Kabanda abagamba nti tebakkiririza mu kusalawo okwakolebwa kooti etaputa semateeka

Kooti yagamba nti ebintu by’okuzaala kwa bakyala tebiriimu byabufuzi nga bikolebwaako buli omuli ne palamenti

Bannakyeewa bano balumiriza nti ebitundu by’okussa eddagala mu malwaliro mulimu gwa gavumenti era nga obutakikola kutyoboola ddembe ly’abantu okubeera n’obulamu obulungi.

Abalamuzi omusanvu aba kkooti y’okuntikko babadde batudde kyokka ng’omuwaabi wa gavumenti Patricia Mutesi tabaddewo.

Abakyala 16 beebafiira mu ssanya buli lunaku nga bazaala