Ebyobulamu
Lwaki musalako Mulago amazzi-babaka
Abali mu mulimi gw’okulwanirira ebyobulamu ebirungi eri bannayuganda bakwemulugunya mu palamenti nga bagaala eyingira mu mbeera mu ddwaliro ekkulu e Mulago
Ssabbiiti ewedde, eddwaliro lino lyasalwaako amazzi olw’ebbanja kya buwumbi 6
Bannakyeewa bano nga bayita mu kibiina kyaabwe ekya Voices for health bagamba nti embeera mu ddwaliro e Mulago eyongera kweralikiriza era nga yabulabe eri abalwadde abaliyo
Abamu ku bano okuli Robinah Kaitiritimba ne Allen Tegulle bagamba nti gavumenti essaanye okufaay ku mbeera mu malwaliro naddala ku bintu ebikulu ng’amazzi
Bbo nno abamu ku babaka abatuula ku kakiiko ke byobulamu balumbye ab’ekitongole ky’amazzi olw’okusalako abe Mulago amazzi ate nga bakimanyi nti abalwadde beebabonaboona
Omubaka w’ekibuga kye Mbarara Medard Bitekyerezo agamba nti Mulago yadde yandibadde esasula, naye wandibaddewo okuteesa mu kif ky’okusaalako amazzi.