Ebyobulamu
Mali eweddemu Ebola
Eggwanga lya Mali lirangiriddwa ng’eriweddemu obulwadde bwa Ebola
Kiddiridde abasawo okulondoola embeera mu ggwanga lyonna okumala ennaku 42 nga tewali mupya afunye kirwadde kino.
Omulwadde wa Ebola eyasemba mu ggwanga lino yalabwaako mu December w’omwaka oguwedde
Obulwadde bwebumu era bukendedde mu mawanga amalala nga Sierra Leone ne Guinea.