Ebyobulamu

MildMay efuuse ddwaliro ddamba

Ali Mivule

February 18th, 2015

No comments

mildmay hiv

Eddwaliro eribadde liyamba ku balina obulwadde bwa mukenenya erya Mild may kati lifuuse ddwaliro eriwedde emirimu nga lyakuwereeza mu buli kimu.

Amyuka akulira eddwaliro lino George Wanishinyi agamba nti eddwaliro lino basazeewo okuligezza okutereeza eby’ebyobulamu e Wakiso n’ebitundu ebiriranyewo.

Omubaka omukyala owe Wakiso Rosemary Sseninde agamba nti eddwaliro lino ligenda kuyamba okuwereeza abantu ate ku nsimbi ensaamusaamu