Ebyobulamu
Minisitule y’ebyobulamu yakusisinkanamu na ba global fund
Minisitule y’ebyobulamu yakusisinkanamu abagabi b’obuyambi ab’ekibiina kya global fund okuteesa ku kyokuba nti eddagala eriweweza ku siriimu ligulibwa kuva mu kkolero ly’eddagala erya CIPLA quality chemicals.
Kino kibikuddwa minisita omubeezi kola gunonaguli mu minisitule eno Dr.Chris Baryomunsi bweyabadde asisinkanyemu ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko akalwanyisa siriimu.
Baryomunsi agamba nti minisitule yateeka omukono ku ndagaano n’aba quality chemicals eddagala lyonna ligulibwe eyo wabula kyannaku nti nti tekisobose olw’obukwakulizo obwatekebwawo abagi b’obuyambi.