Ebyobulamu
Minista alambudde eddwaliro- by’asanze bimukubye wala
Minista omubeezi akola ku byobulamu Ellioda Tumwesigye akyaddeko ku ddwaliro e Mulago mu ngeri buli omu gy’abadde tasuubira
Tumwesigye abadde ava e Kyankwanzi agambye nti abadde ayagala kulaba mirimu bwegitambula n’okulaba oba eddwaliro liri mu mbeera nnungi
Ono nno eno gy’agwiridde ku mukyala abadde yakazaala abalongo abatannaba kutuuka naye ng’abaana be babadde tebasobola kussibwa mu kyuuma ekikuza abaana
Eddwaliro lino lirina ebyuuma bino kyokka tewaliiwo basawo babiddukanya kale nga biringa ebitakola.
Minisita asuubizza nga bwebagenda okukola ku nsonag eno mu bwangu ddala nga ne minisitule ekola ku byobulamu bw’ekola ku nsonga z’abasawo abatono mu ggwanga