Ebyobulamu
Monitor ewagidde kokoolo
KKampuni ya Monitor Publications Limited ng’eno y’etwaala Dembe FM ekwataganye ne bannakyeewa okutongoza kawefube w’okulwanyisa kokoolo asinga okutawaanya abakyala
Abantu bajja kukeberebwa kokoolo w’amabeera n’owa nabaana ku bwereere kko n’okusomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu kokoolo.
Kino kiwagiddwa ebibiina nga Uganda HealthCare Federation ne National Cancer Awareness Association.
Okukebera kuno kwakubeera ku malwaliro nga ARR, Kampala Hospital, International Hospital Kampala, International Medical Centre ne Nakasero Hospital.
Akulira ekibiina kya Uganda health care federation Grace Ssali Kiwanuka, agambye nti abakyala bangi bakimanyi nti balina okukeberebwa kokoolo kyokka nga tebakikola.
Akulira Monitor publications Tony Glencross agambye nti kokoolo yetaaga kutabukira ng’abantu bayita mu kwekebeza n’okumanya ebisingawo ku kokoolo.