Ebyobulamu
Mubangule abantu ku TB
Gavumenti esabiddwa okwongera okubangula abantu ku bulwadde bwa TB
Kino kijjidde mu kaseera ng’eggwanga lyetegeka okukuza olunaku lw’okukandula amaloboozi ku bulwadde buno ssabbiiti eno
Omusawo mu ddwaliro lya Kisenyi Health center Daniel Ssebagala agamba nti abalwadde abasinga beebogeddeko nabo bamanyi kitono ku bulwadde buno
Agamba nti bangi era tebafaayo kugenda mu malwaliro kufuna bujjanjabi ate abalala bwebalwaawo okuwona nga babivaako
Alipoota eyafulumizibwa mu mwa 2013 eraga nti Uganda yatubira mu lutalo ku Kafuba ng’abantu emitwalo emitwaalo ena mu enkumi nnya beebafuna ekirwadde kino mu mwaka gwa 2012 gwokka