Ebyobulamu
Mubunyise enjiri ku siriimu
Bannayuganda bulijjo bakubiriziddwa okubunyisa enjiri y’okulwanyisa siriimu mu ggwanga.
Obubaka buno buwereddwa ab’ekibiiina ekilwanyisa mukenenya ekya Uganda Cares nga bali wamu ne dembe FM mu kawefube gwebaliko okulonda abatontomi abanywedde mu banaabwe akendo mu kuyiiya ebitontome ebirimu obubaka bw’okulwanyisa mukeneneya.
Omu ku bakulira ekibiina kino Alice Kayongo ategezezza nga bwebagala okulaba nga obubaka bw’okulwanyisa siriimu mu ggwanga bubuna mungeri zonna ezisoboka.
Bbo abantu abasoba mu 200 bebewandiisizza mu mpaka zino , akakumunta nekasigaza 50 nga era abasazi b’empaka bakulondako 15 bokka.
Empaka zino zezikulembeddwamu emikolo gy’okukuza olunaku lwa siriimu olugenda okubeera e Nabweru nga era aba Uganda Cares ne Dembe Fm bakukebera abantu siriimu ku bwerere n’okudubuda abo abamulina