Ebyobulamu
Mugule ebyuuma-Pulezidenti Museveni
Pulezident museveni alagidde aba ministry y’ebyobulamu okugula ebyuuma byonna ebyetaagisa ku dwaliro ekkulu e Mulago
Kino kizze ng’ebyuuma ebisinga birina ebizibu ,ebipya byebyetaagisa nga n’ebimu byatalagga dda.
Minista w’ebyobulamu, Dr Ruhakana Rugunda agamba nti batandise kawefube w’okugula ebyuuma bino okulaba nti eddwaliro litereera mu buli kimu
Rugunda agamba nti eddwaliro lino lifuna abalwadde bangi kyokka ng’ebyuuma bitono.