Ebyobulamu
Mukendeeze ku mwenge
Bannayuganda basabiddwa okukendeeza ku kunywa omwenge kubanga gwe gusinga okuvaako endwadde y’omutima.
Kakensa mu ndwadde z’omutima , Doctor Wilson Nyakoojo , agamba nti endwadde z’omutyinma zisibuka nyo ku bitamiiza.
Agamba nti abanywa buli lunaku boolekedde obuzibu bw’okukwatibwa endwadde z’omutima.
Okunoonyereza okwakoleddwa mu mwezi gw’okusatu kulaga nti Uganda eri mu kifo kya munaana mu nsi yonna mu butamiivu ate namba emu ku lukalu lwa Africa.