Ebyobulamu
Mulago -Ssente za Sikaani empya zirabise
Eddwaliro ekkulu e Mulago lyakugula ebyuuma ebipya nga bino bibalirirwaamu obukadde bwa doola 18.
Omukulu addukanya eddwaliro lino David Nuwamanya agamba nti baamaze okufuna ensimbi okuva mu Banka ya Africa era ng’ebyuuma bigenda kutuuka akadde konna.
Nuwamanya agamba nti kino kyakubayamba nnyo okukoma okusindika abantu ebweru era nga sikaani bagenda kugula mpya