Ebyobulamu
Mulwanyise endwadde ezitangirwa
Minisitule y’ebyobulamu esabiddwa okwongera ensimbi mu kulwanyisa endwadde ebisobola okutangirwa.
Omubaka we Buikwe mu bukiikaddyo Dr. Lulume Bayiga ategeezezza nga bwebazudde nti endwadde ng’omusujja gw’ensiri ne Typhoid bwebisobola okutangirwa ssinga wabaawo amakubo amatuufu ag’okuzirwanyisa.
Bayiga era agamba nti kiba kirungi ebitundu nebirambulwa era abantu nebasomesebwa ku ndwadde zino olwo obulamu nebutaasibwa.