Ebyobulamu
Museveni alumbye ab’ebyobulamu
Pulezidenti Museveni alumbye minisitule y’ebyobulamu olw’okulemererwa okuweereza bannayuganda mu ngeri ematiza
Pulezidenti okuboggola abadde aggulawo omusomo ku ngeri embalirira gy’etambuziddwaamu mu kitundu ekisooka eky’omwaka
Ono agambye nti yadde ebiruubira ebiweza ebitundu 68 ku kikumi bituukiriziddwa, minisitule eno esobodde kugema naye n’etalwanyisa bulungi ndwadde ndala naddala eziva ku bujama
Ono ategeezezza nga minisitule bw’erina omulimu okulwanyisa endwadde entono ezitta bannayuganda omuli ne Typhoid