Ebyobulamu
Musseewo amateeka ku mmere
Amaloboozi agasaba nti wabeewo amateeka ku mmere abantu jebalya gatandise okuwulirwa
Ab’ekibiina ekirwanyisa omugejjo mu nsi yonna bagamba nti emmere emu yabulabe eri obulamu bw’abantu obutawukanako na bintu birala nga sigala
Bano bagaala wabeewo okukoma ku kkampuni ezikola emmere egezza abantu ng’emmere eno ewandikiibwaako ebigambo ebinene nti egezza nga bwekikolebwa ku sigala
Ab’ekibiina kino ekya The Food and Drink Federation bagamba nti kino kyakuyamba abantu okusalawo kiki kyebagaala okusinziira bwebenkana