Ebyobulamu
Nabagereka agemye abaana
Abantu abasoba mu 500 beebafunye obujjanjabi mu nkambi y’ebyobulamu ekubidde mu ssaza lye Kako mu disitulikiti ye Masaka.
Enkambi eno etegekeddwa ekibiina kya maama Nabagereka ekya Nabagereka Development Foundation ng’abaana bagemeddwa, okujjanjaba endwadde ezitali zimu n’okubakebera
Akulira ekibiina kino Solome Nakaweesi Kimbugweagambye nti ekigendererwa mu kino kukendeeza muwendo gw’abaana abafa n’okuddiza abantu ba ssabasajja Kabaka
Yye maama Sylivia Nagginda yenyamidde olw’omuwendo gw’abaana abawala abafumbirwa nga tebetuuse ng’agamba nti kino kyekisinze okwongera kokoolo wa nabaana n’omuwendo gw’abakyala abafiira mu ssanya
Nabagereka era akunze abantu okukozesa enkola za kizaala ggumba okusobola okutegeka amaka gaabwe