Ebyobulamu

Nsalessale ku bigendererwa atuuse-bitono ebikoleddwa

Ali Mivule

January 12th, 2015

No comments

pregnant woman new

Ng’ensalessale w’ebigendererwa by’ekyasa esemberera, gavumenti esongeddwaako olw’obutakola kimala kutuukiriza bigendererwa bino.

Omukungu mu kibiina ky’obwa nnekyewa ekya World Vision James Kintu agamba nti mu bisinze okulemerera gavumenti mwemuli omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya ogweyongera buli lukya

Kintu agamba nti kyenyamiza nti abakyala 17 bafa buli lunaku mu kifo kyewandibaddewo okukendeera

Ono agamba nti kino era bwekiri ne kukundeeza obulwadde bwa mukenenya ng’abantu bongera kugayaala mu kifo ky’okwerinda obulwadde

Nsalessale ku bigendererwa by’ekyasa biyite millennium Development goals wa mu mwezi gw’omwenda omwaka guno.

Ate ng’ebyo obitadde ku mabbali,

Mu kawefube ow’okulwanyisa ekirwadde kya siriimu mu bizinga bye Kalangala, ekibiina kya Uganda Red Cross Society kikwataganye ne gavumenti mu kulwanyisa siriimu mu bavubuka.

Akulira ekibiina kino mu Uganda, Ibrahim Ssenyonga agamba nti bagenda kuyita mu bavubuka abanasomesa banaabwe ku kalungi akali mu kwekuuma era obutazannyira ku mukenenya kubanga atta

Senyonga agamba nti abavubuka bangi batya okwogera n’abakulu ku nsonga z’okwegatta nga ssinga bakozesa abavubuka bakubangiyiriza.

Abavubuka 13 beebamaze okutendekebwa ekibiina kino

Bano bagenda kwegatta ku bavubuka mu bulwaliro bwa gavumenti okutuukiriza ekigendererwa mu kino.