Ebyobulamu
Obubaka ku mukenenya bwakukyuuka
Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kagenda kukyuusaamu mu nkola y’okulwanyisa mukenenya
Mu nkola eriwo, gavumenti etumbula eky’abantu okwewala ebikolwa by’okwegatta, okubeera abeesigwa n’okukozesa kondomu
Ssentebe w’akakiiko ka Mukenenya Prof Vinand Natulya agamba nti bakizudde nti bino ebisatu bino tebimala nga balina okuyiiya engeri gyebayambako bwegutuuka ku mbeera n’enneyisa z’abantu
Prof Natulya agamba nti bagala kutandika kukola bubaka obukyuusa ku nneyisa y’abantu kubanga bakizudde nti kyekimu ku bivuddeko obulwadde
Abantu abali mu bukadde bubiri beebalina ekilwadde kya mukenenya mu Uganda