Ebyobulamu
Obuduuka bw’eddagala bulabuddwa
Ab’ekitongole kya KCCA olwaleero basisinkanye ab’obuduuka obutunda eddagala mu Kampala mu kawefube w’okutereeza omulimu guno.
Eno gyebategerezeddwa nga lisinsi zaabwe bweziggwaako ku nkomerero y’omwezi guno era nga balina okuzizza obujja
Akulira eby’obulamu mu KCCA, Dan Okello agamba nti era bagenda kunyweeza amateeka ku buduuka buno kubanga bungi buvuddeko abantu okufa
Okello agambye nti era teri kaduuka kagenda kuweebwa lisensi nga tekalina basawo batendeke kubanga bakizudde bungi bukolwaamu ba luganda bako na ba mikwano ekintu ekikyaamu