Ebyobulamu

Obujjanjabi eri abalina endwadde ezitawona

Ali Mivule

August 27th, 2013

No comments

Palliative care

Ministry y’ebyobulamu ebaze kunkola analambika obujjanjabi eri abantua balina endwadde ezitawona

Minister omubeezi akola by’obujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba nti kino kijja kuyamba abantu bano okufuna obujjanjabi obuli ku mutindo.

Akulira ekibiina ekigatta abantu abalabirira abalwadde ab’ekika kino,Fatia Kinyange mukakafu nti ng’enkola eno ezze, omuwendo gw’abafa nga tebannatuuka gwakukendeera