Ebyobulamu
Obukebera siriimu ng’oli waka buzze
Obuuma omuntu bw’asobola okukozesa okwekebera oba alina obulwadde bwa mukenenya butandise okutundibwa mu Bungereza
Buno bwefananyirizaako abakyala bwebakozesa okwekebera oba bali mbuto oba nedda nga tebwetaaga ate kugenda mu byuuma birala
Buno era butunuulira musaayi okwekebejjebwa okulaba oba gulimu obuwuka oba nedda
Abakugu wabula bagamba nti abo abeezuula nti balina mukenenya balina okweyongerayo mu ddwaliro okukakasa bino
Abakoze akuuma kano bagamba nti kano kakuyamba nnyo okwongera ku muwendo gw’abantu abali ku ddagala kubanga bangi babadde bagayaala okwekebeza