Ebyobulamu

Obulwadde bwa Hepatitis B butabuse

Ali Mivule

January 6th, 2015

No comments

hepatatis

Abakulembeze mu disitulikiti ye Paliisa balaze okutya olw’abantu abalwaala ekirwadde ky’ekibumba ekya Hepatatis B okweyongera.

Okusinga amagombolola okuli   Petete, Opwateta ne  Kameke gegasinze okukosebwa nga era abantu 10 bebalwala ekirwadde kino nga 3 baba bayi.

Akulira eby’obulamu mu mu disitulikiti eno  Anthony Kalele agamba ekisinga okwenyamiza kwekuba nga abantu mu kifo ky’okugenda mu malwaliro bawoza babaloga nebeyunira amasabo.