Ebyobulamu

Obulwadde bwa Hepatitis B

Ali Mivule

November 22nd, 2013

No comments

hepatatis

Palamenti eyisizza ekiteeso ekisaba nti gavumenti ebeeko ky’ekolera omuwendo gw’abantu abalina obulwadde bwa Hepatitis B mu ggwanga ogweyongedde.

Obulwadde buno bukwata kibumba era nga busenkenya mpola omuntu okutuusa lw’afa.

Ekiteeso ekikola okusaba kuno kireeteddwa  omubaka omukyala owe Kyenjojo, Linda Timbigamba  agambye nti obulwadde buno businga n’obwa mukenenya okubeera obw’obulabe kyokka nga tebufiiriddwaako

Ono agamba nti gavumenti esaanye okutandika okugema abantu okulaba nti obulwadde buno butangirwa

Ono era ayagala gavumenti esseewo enkola ennambulukufu ku bulwadde buno n’engeri gyebukwatibwaamu.

Gavumente Kati  ewereddwa emyezi esatu okuba ng’etegeezezza ababaka ku wa w’etuuse.