Ebyobulamu
Obulwadde bwa Marburg- Gavumenti tetudde
Omuwendo gw’abantu abateberebezebwa okubeera n’ekirwadde kya Marburg gwongedde okulinnya.
Abalala 17 baawuddwa mu bantu abalala nga kati abateberezebwa okubeera n’ekirwadde kino bali 97
Alondoola endwadde ezibalukawo mu minisitule y’ebyobulamu Dr.Isa Makumbi agamba nti batandise n’okusomesa abasawo e Mengo ku ngeri gyebayinza okukwatamu abantu abalina ekirwadde kino.
Makumbi agamba nti abantu basaanye okubategeeza amangu ddala nga waliwo gwebekengedde
Olunaku lwajjo, minisitule y’ebyobulamu yakakasizza nti obulwadde bwa Marburg bubaluseewo mu ggwanga nga ku luno bwatandikidde mu kampala
Obulwadde buno bwakatta omuntu omu era nga yafiira mu ddwaliro e Mengo.
Omuntu kw’alabirira ekirwadde kya Marburg kwemuli omusujja, okulumwa omutwe, okumenyeka, n’okuvaamu omusaayi.
Obulwadde buno bwasemba okubalukawo mu mwaka gwa 2013 era nga bwatta omuntu omu ku bataano ababufuna