Ebyobulamu
Obulwadde bw’omutima bweyongedde mu baana
Abaana abasoba mu mutwaalo gumu mu kakaaga beebazaalibwa n’obulwadde bw’omutima buli mwaka
Amyuka akulira eddwaliro lino Dr Peter Lwabi agamba nti ku baana bano ebitundu 60 ku kikumi beebalongoosebwa buli mwaka abalala nebasigala olw’ebbula ly’ensimbi.
Dr lwabi agamba nti abaana abali mu 8000 beebalina okulongoosebwa nate nga tekisoboka kubanga tebalina ssente
Ono agamba nti obukadde 466 obubaweebwa okuddukanya eddwlairo lino tezimala kulaba nti abaana bano bonna bakolebwaako
Omwana yenna okulongoosebwa yeetaaga doola 1000 ng’okuzizza mu zaawuno bwebukadde bubiri kitundu era ng’abazisobola batono ddala