Ebyobulamu
Obulwadde obukwata ekibumba butabukidde ebe Serere
Obulwadde bwa Hepatitis B obwalumba abantu ne Serere butunduzza emitima gy’abakulembeze mu kitundu kino.
Okusinziira ku bakulira district eno, abantu ebitundu bitaano ku kikumi eby’abantu mu district eno balina ekirwadde kino.
Kino kitegeeza nti buli lw’obala abantu 100, bataano baba balina ekirwadde kino.
Minisitule ekola ku by’obulamu gyebuvuddeko yasindika ekibinja ky’abakugu okwetegereza ekirwadde kino n’oluvanyuma bakole alipoota.
Omubaka omukyala ow’ekitundu kino, Alice Alaso agamba nti kyandibadde Kirungi minisitule n’etandika okugema abantu okulaba nti obulwadde buno bukoma okutambuzibwa
Ministitule y’ebyobulamu egamba nti abantu abali mu bukadde 3 beebalina obulwadde buno mu Uganda
Obulwadde buno butambuzibwa akawuka akakwata ekibumba ky’omuntu nga kamusenkenya mpola okutuuka lw’afa.
Obumu ku bubonero kw’obulabira kufumba maaso