Ebyobulamu
Obulwaliro 3000 bwebwakaggalwa
Obulwaaliro obutunda eddagala obutatukagana namutindo obusukka mu 3000 bwebwakaggalwa mu bitundu ebyesudde ekibuga Kampala.
Kati buli ddwaliro erikeberebwa nga lituukagana na mutindo liteekebwaako akabonero akalaga nti lisaanidde olwo obutalina bisanyizo buggalwa.
Akulira ekitongole ekikola ku by’eddagala Gordon Ssematiko agamba nti obulwaliro bungi bwakereberwa nga tebulina bisanyizo nga n’abasawo benyini ababukolamu tebalina bukugu
Ssematiko agamba nti ekikwekweto kyakugenda mu maaso.