Ebyobulamu
Obunene busobola okuba obusikire
Abakugu mu by’obulamu bakizudde nga omuntu bw’ayinza okufuna obulwadde bw’okugejja okuva ku bajjaja be.
Bakakensa bano bazudde nga omuntu omu ku mukaaga bwebasobola okusikira obulwadde buno okuva ku bajjaja baabwe, oba abazadde.
Kino kimaze ebbanga nga kinonyerezebwako okutuusa bwe kizuuliddwa nti omuntu asobolera dala okugejjulukuka olwa jajja we eyali omunene oba abamusokawo.
Obulwadde bwomugejjo buvaako omuntu okugejuluku nokusingira dala olubuto.
Kino kisobozesezza abasawo okuzula n’eddagala erisobola okuwonya ekirwadde kyokugejja .