Ebyobulamu

Obuteebaka ofunamu ndwadde za Mutima

Ali Mivule

September 4th, 2013

No comments

sleeping

Obuteebaka kimala kya bulabe nnyo eri obulamu bw’omuntu.

Okusinziira ku basawo, omuntu alina okwebaka okumala essaawa munaana okubeera obulungi kyokka nga bangi tebaziweza.

Bannasayansi bagamba nti obuteebaka buvaako endwadde z’omutima omuli ogwewuuba, nga gusobola n’okwesiba omulundi gumu omuntu n’afa ekibwatuukira.

Abantu abaweza ebitundu 90 ku kikumi bafuna obulwadde bw’omutima olw’ensonga nti tebeebaka kimala.

Kyokka era mu ngeri yeemu abakyala n’abaami abateebaka kimala batera okubeera ba ssekibotte n’obutanyumirwa mu mukwano.