Ebyobulamu
Obutimba bw’ensiri tebumala
Ministule ekola ku byobulamu asabidwa okutandika kawefube w’okugaba obutimba mu malwaliro ne mu bisulo by’amasomero kawefube ku musujja gw’ensiri bw’aa wakuvaamu ebibala.
Omubaka we Kasese omukyala Winfred Kiiza agamba nti yadde waliwo obutimba obugabwa mu maka, tekimala ssinga abamu balekebwa ebbali.
Kiiza awadde eky’okulabirako eky’eddwaliro lya Bwera ly’agamba nti teririna butimba ng’abalwadde basulirawo ekibassa mu bulabe bw’okufuna omusujja gw’ensiri
Kiiza era agamba nti abazadde bangi tebasobola kugulira baana butimba kyokka nga ssinga babusanga ku masomero kiba kyanguya buli kimu.
Omusujja gw’ensiri gwegwakasinga okutta abantu ng’abaana abali wansi w’emyaka 5 beebasinze okulugenderamu.