Ebyobulamu

Obutimba buwewa mmere ya nkoko

Ali Mivule

April 28th, 2014

No comments

 mosquito nets

Mu disitulikiti ye Lwengo ku kyaao kya Lwengo Rural, abaayo obutimba bw’ensiri babusiba ku biyumba bya nkoko

SSentebe w’ekitundu kino Joseph Lubega bazonoona agamba nti ate abalala obutimba buno babukozesa kusengejja mmere ya nkoko

Bazoonona agamba nti ekikwekweto ekigenda okuyoola abantu bonna abagwa mu kkowe lino kyakugenda mu maaso okukwata abantu bonna abakozesa obubi obutimba buno

Wabula Lubega anenyezza minisitule y’ebyobulamu olw’obutakola kimala kusomesa bantu ku ngeri y’okukozesaamu obutimba buno