Ebyobulamu
Obuyonjo eri abakyala abali mu nsonga kikulu
Olwaleero Uganda yeegasse ku ku nsi yonna okukuza olunaku lw’obuyonjo olwabawala abali mu nsonga.
Olunaku luno lugendereddwamu kugonjoola bizibu abakyaala n’abawala byebayitamu nga bali mu nnaku zaabwe.
Mu mwaka gwa 2012, ekibiina okuva mu ggwanga lya Budaaki ekya Netherlands Development Organisation kyakola okunonyereza nekizuula nti abawala bangi bayita mu mbeera mbi nga bali mu mbeera zaabwe ez’ekikyaala.
Omuwi w’amagezi eri ekibiina kino , Ali Chemisto agamba abawala 60% beebulankanya mu masomero nga bali mu nsonga z’ekikyala sso nga bbo 20% bawanduka mu masomero lwansonga eno.
Chemisto agamba nti kino kirina okukyuukamu