Ebyobulamu

Obwenzi mu basajja ssi buzaale

Ali Mivule

July 30th, 2013

No comments

men cheat

Abasajja abenda nga beekwasa nti tebasobola kwekomako ku luno eby’okuwoza bibaweddeko.

Okunonyereza okukoleddwa kulaga nti teri Muntu atasobola kwekomako bwegutuuka ku nyonta y’omukwano

Abasaw bagamba nti abantu abasinga naddala abasajja okwenda basooka kulowooza nnyo ate abamu nebagoberera ebirowoozo ebyo nga bagaala okubissa mu nkola

Abakugu okukola okunonyereza kuno nga bagaala kuzuula oba ddala waliwo abantu abazaalwa nga benzi nga baba tebasobola kwekomako.

Kino kisanguddewo endowooza eyo nga ssinga omusajja ayenda, manya nti aba akigenderedde.