Ebyobulamu
Okufa kw’abakyala b’embuto- obukiiko tebukola
Minisitule y’ebyobulamu erangiridde enteekateeka y’okukyuusa mu bukiiko bw’obulamu ku byaalo.
Minista omubeezi akola ku bujjanjabi obusookerwaako Sarah Opendi agamba ekigendererwa kwongera muwendo gw’abakyala abagenda mu malwaliro nga bali mbuto
Minisita agambye nti kino kijja kuyamba okukendeeza omuwendo gw’abakyala abafiira mu sanya nga kati balinnye okutuuka ku 17 buli lunaku
Opendi agamba nti ab’ebyaalo bino bakutambula nga bakunga abakyala abali embuto okunywa eddagala kubanga kyekyokka ekijja okuyamba okukendeeza ku bafa
Okusinziira jy kunonyereza okwakolebwa minisitule y’ebyobulamu mu mwaka 2011, ku buli bakyala emitwaalo 10 abazaala, 438 bafa.