Ebyobulamu
Okugema abaana
Abaana abali mu bukadde 2 abali wansi w’emyaka etaano beebagenda okugemebwa obulwadde bw’okugongobala
Enteekateeka eno egenda okumala ennaku ssatu yakubuna mu disitulikiti 37 Muno mwemuli Amudat, Buduuda,Bugiri, Buikwe, Mayuge, Kyenjojo n’endala nyingi
Omukungu mu minisitule y’ebyobulamu, Jane Aceng agamba nti bagaala kukendeeza ku muwendo gw’abaana abali mu bulabe bw’okugongobala.
Abaana abali mu mitwalo 15 beebatali bageme ate nga bbo abali mu mitwalao 25 bali mu bulabe bw’okufuna obulwadde buno.