Ebyobulamu
Okugema abasawo Hepatitis
Minisitule y’ebyobulamu etongozezza kawefube w’okugema abasawo bonna mu kawefube w’okulwanyisa ekirwadde kya Hepatitis mu Uganda.
Minisita akola ku byobulamu Dr Elioda Tumwesigye agamba nti kino kigendereddwaamu kutangira kirwadde kino kuva ku balwadde kukwata basawo ate abalina okubakolako
Tumwesigye agamba nti bannayuganfa abali mu bukadde 16 beebali mu bulabe bw’okufuna ekirwadde kya Hepatitis.