Ebyobulamu
Okugema omusujja gw’ensiri
Abanonyereza ku ddagala erigema obulwadde bw’omusujja gw’ensiri baliko webatuuse.
Eddagala lino balikozesezza ku bantu 15, 12 nebatafuna bulwadde buno kyokka nga kyeyolesse nti omuntu okumugema olina okumuwa eddagala elinonyerezebwaako eriwera
Abantu bano eddagala lino lyabakubiddwa mu mpiso era nga kyazuuse nti emibiri gyaabwwe gyayongedde okuguma nebatafuna bulwadde buno mulundi mulala
Abantu obuwumbi 3 beebali mu bulabe bw’okufuna omusujja gw’ensiri nga ku bano abasing bali ku Ssemazinga wa Africa