Ebyobulamu
Okugema Polio kuddamu wiiki eno
Oluvannyuma lw’ekirwadde kya polio okweyongera mu ggwanga nga kisibuka ku bantu abayingira eggwanga okuva mu mawanga maliraanwa ministry y’eby’obulamu ng’eyita mu kitongore kyaayo ekirwanyisa naganga wa polio etandise enteekateeka y’okuddamu okugema abaana bonna abali wansi w’emyaka etaano nga mu district y’e Mubende
y’emu kwezo ezitandikirwako n’oluvannyuma basaasaane eggwanga lyonna. Kaweefube ono ageenda okutambula nnyumba ku nnyumba, mu mamotoka munda, amabbali g’enguudo mu bisaawe awazanyira abaana n’awona awateberezebwa okubeera omwana bakutuukawo nga bagema abaana bonna okuva ku y’akazaalibwa okutuuka ku w’emyaka etaano, n’ebwababa yagemwa dda balina okuddibwamu kiyambeko emibiri gyaabwe okufuna amanyi okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya.
Bw’abadde mu kubangula abakulu ku district e Mubende, kalondoozi w’enteekateeka eno Rose Bongore agambye nti omulimu guno gwakutandika nga 17th-19th January nga bakweyambisa nnyo obukulembeze bw’ebyaro n’emiruka.
Bongera asabye abazadde okukolagana obulungi n’abanagema abantu okusobozesa abaana bonna okuggwayo kitaase n’eggwanga okujjibwa ku lukalala lw’ago agaanokolwayo ekitongore kya WHO ng’eririmu obulwadde buno kuba bukyayinza okulemesa n’abantu okuggya mu ggwanga.