Ebyobulamu

Okugema poliyo kufundikiddwa

Ali Mivule

January 19th, 2015

No comments

Polio

Okugema kw’ekikungo okw’obulwadde bwa poliyo kukomekerezeddwa olunaku lwaleero.

Okugema kuno okukoleddwa nju ku nju kwatandika wiiki ewedde ku lw’omukaaga era ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna kyekitaddemu obuwumbi obusoba mu 14

Abaana abali wansi w’emyaka 5 bebagemeddwa mu nteekateeka eno.

Omwogezi wa minisitule y’eby’obulamu  Rukia Nakamatte agamba ebibinja b’ebyobulamu byakusindikibwa mu maka g’abazadde abaana baabwe abatanagemebwa era bakakafu nti batuukirizza ekigendererwa kyaabwe.