Ebyobulamu
Okujingirira ebiwandiiko bya Mukenenya
Akakiiko akakola ku bulwadde bwa mukenenya kavumiridde eby’okuguza abantu ebiwandiiko ebiraga nti tebalina mukenenya
Okunonyereza okwakolebwa aba BBC kwalaga nti bannayuganda bangi abasaba emirimu ebweru oba nga bagenda okufumbirwa bagula ebiwandiiko ebitali byaabwe
Ssentebe w’akakiiko ka mukenenya, Propf Vinand Natulya agamba nti ebikolwa nga bino byolese okuwanika omuwendo gw’abantu abalina mukenenya
Ono agamba nti ebikolwa nga bino era bikosa olutalo lw’awamu ku mukenenya