Ebyobulamu
Okukebera kabootongo kati kwabuwaze mu bakyala ab’emuntu
Bya Ben Jumbe.
Government etegeezeza nga abakyala ab’embuto bonna bwebagenda okutandika okubakebera obulwadde bwa kabotongo mungeri yabuwazze nga kwogasse ne mukenenya .
Bwabadde ayanjula amateeka amapya agegenda okulwanyisa akawuka ka mukenenya, akola ku by’okulwanyisa mukenenya mu ministry eno Dr. Joshua Musinguzi, agambye nti obulwadde buno bwebumu kubivirako abakyala abazaala okulemwa okuzaala obulungi.
Ono agamba nti okukebera kuno kati kwegasse ku kirwadde kya Munekenya kyebabade bakebera era nga kino kitandika mwaka gujja..