Ebyobulamu
Okukola dduyiro ddagala lya kokoolo
Okukola dduyiro kiyamba abakyala beebajjanjaba kokoolo w’amabeere okuwona amangu
Abanonyereza abazudde bino ba mu America kyokk anga bagamba nti ekyenyamiza nti abakyala bangi tebakola dduyiro
Abanonyereza bano basabye abajjanjaba abalina kokoolo okubawa amagezi okukola ennyo dduyiro kubanga kibayambako
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bakyala abawerera ddala 1,735 abali wakati w’emyaka 20 ne 74 abalina kokoolo w’amabeere.
Okunonyereza kuno kwatandika okuva mu mwaka gwa 2008 okutuuka mu mwaka 2011 mu kibuga North Carolina.