Ebyobulamu
Okukozesa akaweta kukendedde
Abebyobulamu mu ggwanga bakizudde nga enkozesa yakaweta mubakyaala nabaami okulongoosebwa enseke ezitwaala enkwaaso kukendedde.
Okunoonyereza kuno kukoleddwa aba Marie stopes uganda nga kyekitongole ekyaaweebwa olukusa ministry yebyobulamu okusaasanya enkola ze kizaala gumba zino.
Okunoonyereza kulaga nga abantu abasing bino bwebaabivaako edda era bazaala buzaazi.
Eyakulidde okunoonyereza kuno Lois Nantayi agamba ekisinze okuletawo kino kwekuba nga nabantu bamanyi kitono kunkola zino.
Wabula ye akulira MarieStopes Uganda John Copper aamba baatandise dda okusomesa abantu kunkola zino ebiri ezekizaala gumba zeyongere okwetanirwa.
Copper agamba enkola zino zikolera dala ate nga tezirina bulabe bwonna.