Ebyobulamu

Okukuba abakyala eddagala elireeta ebisa kireeta endwadde

Okukuba abakyala eddagala elireeta ebisa kireeta endwadde

Ali Mivule

August 13th, 2013

No comments

Autism

Abakyala abakubwa eddagala ly’ebisa bali mu bulabe owb’okuzaala abaana abakosebwa ku bwongo mu bukulu

Kino kisinga kubaawo ssinga omwana azaaliddwa aba mulenzi.

Abaana abali mu mitwaalo 60 beebekenenyezeddwa okuzuula bino

Bannasayansi wabula bagamba nti bakugenda mu maaso nga banonyereza okuzuula lwaki kino tekitera kukosa bawala.

Abasawo bangi bagamba nti okuwa abakyala eddagala ly’ebisa tekiliimu bulabe kubanga emirundi egisinga kikolebwa kutaasa mwana.

Endwadde y’okukosebwa ku bwongo eva ku nsonga nyingi ng’abamu basikiransikire ate mu balala kiva buto nga kikula omuntu akula.