Ebyobulamu
Okukuuma obuyonjo e Mulago
Mu kawefube ow’okwongera okuwanika omutindo gw’obuyonjo mu ddwaliro, ab’eddwaliro lye Mulago bongezezza ku mirundi gyebalongoosa waadi zaabwe
Eddwaliro lino libadde lirongoosebwa emirundi esatu olunaku kyokka nga kati bakulongoosa buli webalaba akacaafu
Omwogezi w’eddwaliro lino, Enock Kusaasira agama nti abalwadde bagaala beeyagalire mu ddwaliro lino nga libawa emirembe.
Kusaasira agamba nti kino ate tekigenda kukoma ku Christmas nga n’ennaku endala bwegujja okuba