Ebyobulamu
Okukyuusa Nabaana-Abakugu batandise okugezesa
Abasawo mu ggwanga lya Sweden batandise okugezesa eky’okukyuusa nabaana w’omuntu nebamuzza mu mulala .
Kino kikolebwa okuyamba abakyala ababa tebasobola kuzaala ate nga bandifunye ababawa abaana
Kino basoose kukikola ku ba luganda
Akulembeddemu enteekateeka eno ye Dr Mats Barnstorm, ng’agamba nti abakyala bangi mu nsi yonna bajja kusobola okuyambibwa
Kino kijja kuyamba abakyala abazaalibwa nga tebalina nabaana oba nga bafuna ebizibu nebaba nga tebasobola kuzaala
Okugezesa kuno kubadde kulina okukolebwa ku bakyala 10 kyokka ng’omu yamaze n’abivaamu olw’ensonag zebyobulamu bwe obutankanibwa
Abakoleddwaako bonna bazaalibwa tebalina nabaana oba nga yagibwaamu olw’okubeera ne kokoolo wa nabaana
Abasinga ku bano bali mu myaka 30 era nga bewaddeyo okugezesebwaako nga bagaala kuzaala baana