Ebyobulamu

Okulongoosa ebizimba by’obwongo

Ali Mivule

August 19th, 2014

No comments

Brain

Veri Junior Kengoro ye Muntu asoose okuganyulwa mu nkambi ekubiddwa mu ddwaliro e Mulago okulongoosa abalina ebizimba ku bwongo.

Kengoro aludde ng’alumizibwa omutwe nga talina maanti kyokka nga bino kati lufumo

Ono nno yoomu ku balwadde 30 abalina ebizimba ku bwongo abalina okulongoosebwa mu nkambi efundikirwa ku lw’okusatu lwa ssabbiiti eno

Akulira abalongoosa emitwe, Dr Michael Muhummuza omuwendo gw’abantu abafuna ebizimba ku bwongo gwongedde okulinnya nga buli lunaku bafuna abantu 3 okutuuka ku bataano kyokka ng’ekibaviirako embeera eno tekinnamanyibwa

Dr. Muhumuza agamba nti mu nkambi eno mwebagenda okwongera okuyiga ebikwata ku bizimba bino n’engeri y’okujjanjabamu ababirina

Agamba nti bakusigala n’ebyuuma ebinabayamba okujjanjaba abeetaga obuyambi