Ebyobulamu

Okulwanyisa ekilwadde kya Sickle cell

Okulwanyisa ekilwadde kya Sickle cell

Bernard Kateregga

September 1st, 2015

No comments

File Photo: Omwana omulwadde wa sickle cell

File Photo: Omwana omulwadde wa sickle cell

Ebibiina byobwanakyewa bibakanye ne kawefube w’okusomesa bannayuganda bonna okwetolola eggwanga ku kirwadde kya Sickle cell.
Ssabawandiisi w’ekibiina ekirwanyisa obulwadde buno okuva mu Amerika ekya Uganda American Sickle cell Rescue Fund Dr. Shalif Tusubira ategezezza nga omwana omu ku buli kkumi abazalibwa bw’aba alina akawuka ka sickle cell.
Anyonyola nti abaana 25,000 abazalibwa n’obulwadde buno bafa buli mwaka.
Kawefube atandikidde mu disitulikiti okuli Luwero ne Nakasongola.
Sickle cells okusinga atta nyo abaana wano ku ssemazinga w’omuddugavu Africa.