Ebyobulamu
Okulya ku mwanyi kirungi
Obadde okimanyi nti okumeketa emwanyi naddala enkalu kiyamba omuntu okujjukira enyo.
Okunonyereza okukoleddwa mu gwanga lya America ,kulaze ng’okumeketa emmwanyi bwekuyamba mu kuwagala obwongo bw’omuntu.
Okunonyereza kuno kukoleddwa ku bantu 160, nekukizuula nti abantu bano bajjukira nyo bwogerageranya abo abamira empeke.
Wabula abakungu basabye abantu obuteyibala kubanga okulya enyo emwanyi ate kiretera omuntu okubulwa emirembe wamu n’otulo.